Isaiah 9

Omulokozi Atuzaaliddwa

1 aNaye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.

2 bAbantu abaatambuliranga mu kizikiza
balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
omusana gubaakidde.
3Oyazizza eggwanga,
obongedde essanyu,
basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,
ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
Kino kyogera ku Gidyoni bwe yawanguka Abamidiyaani

4 dNga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,
omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,
n’ekiti eky’oku kibegabega kye,
n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5 eKubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6 fKubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7 gOkufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.

Obusungu bwa Mukama Ku Isirayiri

8Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,
Yakobo, ne Isirayiri, ne Efulayimu ne Samaliya, byonna byogera ku Bwakabaka bw’omu Bukiikakkono, era ekibuga kyayo ekikulu ye Samaliya.

ku birituuka ku Isirayiri.
9 iEra abantu bonna balibumanya,
Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya
aboogera n’amalala
n’omutima omukakanyavu,
10nti, “Amatoffaali gagudde wansi
naye tulizimbya amayinja amateme,
emisukamooli gitemeddwawo
naye tulizzaawo emivule.”
11 j Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;
alibakumaakuma bamulumbe.
12 kAbasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,
balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye.

Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo
era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

13 lKubanga abantu tebakyuse kudda
wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 mBw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,
ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 nOmutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,
n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 oKubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 pNoolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,
wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;
kubanga buli omu mukozi wa bibi,
era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.

Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako,
era omukono gwe gukyagoloddwa.

18 qDdala ekibi kyokya ng’omuliro;
gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 rOlw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
tewali muntu alekawo muganda we.
20 sBalimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,
naye balisigala bayala;
balirya n’eby’oku kkono,
naye tebalikkuta.
Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21 tManase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase
ate bombi ne balya Yuda.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo,
era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
Copyright information for LugEEEE